Amawulire

Ssabaminisita atongozza okugaba ssente zabaafunampola

Ssabaminisita atongozza okugaba ssente zabaafunampola

Ivan Ssenabulya

July 8th, 2021

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Ssabaminista we’gwanga Robinah Nabbanja atongozza etekateeka yokugaba ssente ku masimu gabanatu, ba mufuna mpola abakosebwa olwomuggalo gwa ssenyiga omukambwe.

Okusinziira ku Nabbanja, abantu emitwalo 12 mu 6,552 bamaze okubakakasa no’kwekenneenya ebibakwatako, era bebagenda okufuna ssente olwaleero.

Minisita wekikula kyabantu Betty Amongi agambye nti abantu abasigadde ebibalo byabwe bakyabyekanneenya.

Mu baakakasiddwa kuliko divizoni ye Nakawa mu Kampala, nga bano balina abantu 6 abagenda okusasaulwa wabulanga e Kawempe teri muntu yenna.

Gulu yesinze okufuna abantu abangi, omutwalo 1 mu 1,618 nekuddalo Lira nabantu 2,806.

Mukono abantu 2,044 bebagenda okuweebwa ssente olwaleero atenga Busia abantu 1,162 nabo ssente zaakutuuka ku maismu gaabwe.

Bwabadde atongoza, Ssabaminisita Robinah akubidde abantu abenjawulo amasimu, nebakkasa nti bafunye ssente.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *