Amawulire

Ssabalamuzi agaanye ebya Kyagulanyi okubatiisatiisa

Ssabalamuzi agaanye ebya Kyagulanyi okubatiisatiisa

Ivan Ssenabulya

February 19th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah,

Ssalabamuzi Alfonse Owiny-Dollo agamba nti abalamuzi ba kkooti ensukulumu sibakutiisibwatiisibwa bigambo bya senkagale wa NUP Robert Kyagulanyi, aka Bobi Wine wakati mu kuwulira omusango gwe mwawakanyiza obuwanguzi bwa pulezidenti Museveni mu kulonda okwaliwo nga January 14 polls.

Ono agambye nti ebigambo byonna ebyogerebwa wabweru wa kkooti tebirina kakwate na musango guno

Dollo bino abyogedde ayanukula kwemulugunya kwa ssabawolereza wa gavt, William Byaruhanga, bwategeezeza nti waliwo akakodyo okwagala okutiisatiisa kkooti mu kuwoza omusango guno.

Ku lunaku olwokubiri bweyali ayogerako ne bannamaulire, Kyagulanyi yasaba abalamuzi basatu abatuula mu kkooti ensukulumu okuva mu kuwulira omusango gwe nga agamba nti bandiba ne kyekuubira.

Yanokolayo abalamuzi okuli ssabalamuzi yennyini Alfonse Owiny-Dollo, Mike Chibita ne Ezekiel Muhanguzi.

Wabula ssabalamuzi Dolo agambye nti ebigambo bya Kyagulanyi birina okumibwa amazzi kuba singa yali tabesiga teyali ddukidde gye bali

Bino bibadde mu lutuula lwa leero Kyagulanyi mwayagalira aweebwe olukusa okuwaayo obujjulizi bwe obulala obusoba mu 200 obuwagira omusango gwe.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *