Amawulire

Ssabalabirizi asiimye abakyala olw’okubunyisa engiri

Ssabalabirizi asiimye abakyala olw’okubunyisa engiri

Ivan Ssenabulya

April 4th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Ssabalabirizi we kkanisa ya Uganda, Dr. Samuel Stephen Kazimba Mugalu asiimye emirimu egikolebwa abkyala mu kubunyisa ekigambo kya Katonda.

Okusinziira ku byawandikibwa ebitukuvu, abakyala abaali bakedde okuteeka akaloosa ku mulambo gwa Yesu bebasooka okumanya ku kufa kwe, bwebasanga ngentaana nakalu, Wabula malayika nabalabikira nabagamba nti bagende bategeeze ensi nti azukidde.

Kati bwabadde akulembeddemu, okusaba kwa Easter ku kanisa ya All Saint Cathedral, agambye nti era abakyala bali ku mwanjo ne yesu bweyali ayoelekera ku lusozi okukomererwa.

Wano wasimidde abakyala olwokuwereza aktonda, era nakunga nbasajje bulijjo okwetabanga mu mirimu gya Katonda.

Ate yye Bwana-Mukulu wa, Christ the King, Monsinyoori Gerard Kalumba agambye nti olwaleero abakristu basaanye okujaguza olwektangaala ekyokuzukira kwa Yezu.

Agambye nti era kikulu nnyo okunoonya katonda, okukira ebintu byensi, kubanga bigwawo.