Amawulire

Ssabalabirizi alonze akakiiko

Ssabalabirizi alonze akakiiko

Ivan Ssenabulya

September 21st, 2019

No comments

Bya Benjamin Jumbe, Ssabalabirizi w’e kanisa ya Uganda anatera okuwumula Stanley Ntagali atadewo akakiiko akagenda okukulira enteekateeka ez’okutuuza ssabalabirizi omugya Samuel Kazimba Mugalu.

Emikolo egy’okumutuuza gyakubeerawo nga 1st march 2020 ku lutiko e Namirembe.

Akakiiko akalondebwa okukulembera enteekateeka z’emikolo kakukulemberwa Nampala wa gavumenti Ruth Nankabirwa

Abalala abali ku kakiiko kuliko ssabaminisita Dr Ruhakana Rugunda, eyali ssabaminisita Amama Mbabazi, Gen Edward Katumba Wamala, Hon. Betti Olive Kamya, Hon. David Bahati, omulamuzi Hellen Obura, ne gavana wa Bank enkulu Prof Tumusiime Mutebile.

Ssabalabirizi Ntagali yebaziza abaalondebwa obutagaana buvunanyizibwa okusobola okuwereza katonda mungeri eyo.

mungeri yemu sentebe wakakiiko Nakabirwa yaasuubiziza okuwereza obulungi mu kifo ekyamuweredwa.

Akakiiko akaalondebwa kakutegeka nomukolo ogusibula ssabalabirizi Ntagali.