Amawulire

Ssabalabirizi alangiridde okusabira egwanga

Ssabalabirizi alangiridde okusabira egwanga

Ivan Ssenabulya

January 10th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Ssabalabirizi we kkanisa ya Uganda, Dr. Samuel Steven Kaziimba Mugalu, akowodde bannaYuganda okugenda mu kusaba, ngegwanga ligenda mu kulonda.

Bwabadde akulembeddemu okusaba mu maka ge, Ssabalabirizi alangirirdde okusaba nga kugenda kukulemberamu okulonda ne nnaku ezinagoberera okulonda.

Okusaba kuno agambye nti kulubirirdde okwegayirirra Katonda, emirembe gibeere mu gwanga.

Bino webijidde ngabe kkanisa ya Uganda tebetaba buterevu mu kusaba okwe nnaku 3, okwali kutegekeddwa aba Joint Christian Council, ekyatunulira ngakataali kabonero kalungi.

Ssabalabirizi era ayongedde nasaba abantu obutesamba kulonda, wabula bakwetabemu kubanga kyabwakatonda.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *