Amawulire

South Sudan erabudde abasubuzi ku luguudo lwa Oraba-Kaya, Yei-Juba

South Sudan erabudde abasubuzi ku luguudo lwa Oraba-Kaya, Yei-Juba

Ivan Ssenabulya

March 31st, 2021

No comments

Bya Musasi Waffe

Gavumenti ya South Sudan eragidde abasubuzi abakolera ku luguudo lwa Oraba-Kaya, Yei okutuuka e Juba okulwewala olwobutali butebnkevu obweyongedde mu bitundu mweruyita.

Gavumenti etegezeza ngoluguudo lubo, bweruwambiddwa abayekera, nobunjia byabalwanyi obugenda bulumba abasubuzi.

Bwabadde awayaamu ne banaffe aba Daily Monitor, kamisona wa Lanya County mu Yei River State, Morris Kenyi, agambye nti abasubuzi basobola okukozesa oluguudo lwa Nimule.

Mu bulumbaganyi obwabaddewo, emirambo 11 gyegyakajibwayo.

Kenyi agambye nti okusinga abalwanyi wansi wa National Salvation Front (NAS) abaddumirwa Gen. Thomas Cirilo nobubinja bwabalunzi bebatadde abantu ku bunkenke.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *