Amawulire

Somalia tebalina pulezidenti

Somalia tebalina pulezidenti

Ivan Ssenabulya

February 9th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Akakiiko kekibiina kyamawanga amagatte akebyokwerinda, UN Security Council kagenda kutuula olwaleero okutees ku nsonga zobukulembeze bwa Somalia, wetwogerera obuyuugana.

Abavuganya gavumenti mu Somalia balayidde nti tebagenda kukiriza Mohamed Abdullahi Farmajo ngoukulembeze we gwanga, kubanga ekisanja kye kyaweddeko olunnaku lwe ggulo.

Wabula tekinategerekek ddi lwebanalonda, oluvanyuma lwenteseganya ezaliwo nga 5 Febwali, wakati wa gavumenti ezamasaza ne gavumenti eya awakati okugwa obutaka.

Kati waliwo omuwaatwa, gwobukulembeze wabulanga ekibiina kyamawangaamagatte kyasabye abakulembeze bonna batuuke ku kukaanya.