Amawulire

Sipiika Kadaga apondose

Ali Mivule

December 12th, 2013

No comments

Kadaga
Sipiika wa palamenti Rebecca Kadaga apondose.

Akkiriza ssabaminista okusoma ekiwandiiko kya gavumenti eky’okusiima emirimu egyakolebwa Nelson Mandela.

Kadaga yatuuza dda olukiiko luno kyokka nga terwetabwaamu ba minista abaali mu lusirika era okuva olwo gavumenti ebadde eremeddeko ng’eyagala ensonga eno edde mu ddiiro.

 
Nampala wa gavumenti,Justine Lumumba ategeezezza nga bwebatuuse ku kukkaanya ne Kadaga enkya ya leero era nga buli kimu kiwedde ssabaminista wakusoma ekiwandiiko kya gavumenti