Amawulire

Sijja kuwaayo bukulembeze bwa IPOD- Mao

Sijja kuwaayo bukulembeze bwa IPOD- Mao

Ivan Ssenabulya

October 22nd, 2019

No comments

Bya Prossy Kisakye Kisakye, Omukulembeze wa Democratic Party Norbert Mao ategeezezza nga bwatagenda kuwaayo bukulenmbezze bwa IPOD eri ekibiina kya Forum for Democratic Change  okuleka nga bafunye olutuula ne bamalaawo obutakanya kunsonga ezimu .

Bwabadde ayogerako mu lukungana  lwa bannamawulire Mao agambye nti ye talina buzibu kuwaayo buyinza eri aba FDC wabula kino kyakubaawo oluvanyuma lwa FDC okutangaza weyimiridde ku nsonga za tabamiruka wa IPOD.

Ebigambo bya Mao bizeewo oluvanyuma lwa FDC okuwulirwa nga egamba nti yyo tesobola kutuula yadde okuteesa ne Museveni atwala ekibiina kya NRM era nga baze bazira enkungana zonna eza IPOD omukulembeze zaaba asuubirwa okwetabamu