Amawulire

Sijja kusabiriza- Gilbert Bukenya

Ali Mivule

March 20th, 2014

No comments

bukenya m7

Eyaliko amyuka omukulembeze weggwanga Gilbert Balibaseka Bukenya agambye nti kikafuuwe okusabiriza gavumenti akasiimo ke.

Olunaku lwajjo ababaka abatuula ku kakiiko akakola ku nsonga z’omukulembeze w’eggwanga kemulugunyizza ku ngeri Bukenya gy;’ayisibwaamu nga taweebwa kasiimo ke nga bwekirina okuba

Ng’ayogerako eri bannamawulire ku palamenti, Bukenya agambye nti amanyi ebirina okumuweebwa kyokka tajja kufukamirira muntu yenna.

Bukenya agamba nti musanyufu neky’alinawo kale nga tayinz akujjukiza bantu buvunanyizibwa bwaabwe

Ono wabula asabye gavumenti okussa ekitiibwa mu tteeka ku bantu abasaabye okuweebwa obusiimo

Mu mateeka, omuntu yenna eyaliko omukulembeze w’eggwanga, amyuka omukulembeze w’eggwanga oba ssabaminista gavumenti eriko omutemwa gw’emuwa buli mwezi okweyimirizaawo

Bano era balina okuweebwa enyumba,emmotoka era nga bajjanjabibwa n’abaana baabwe bana