Amawulire

Sheikh Siliman Kasule Ndirangwa alekulidde

Sheikh Siliman Kasule Ndirangwa alekulidde

Ivan Ssenabulya

April 2nd, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Sheikh Siliman Kasule Ndirangwa akawungeezi akayise, alangiridde nti alekulidde, nga Supreme Mufti wa Uganda, ekiwayi ekituula e Kibuli.

Bwabadde ayogerako ne bannamwulire e Bulange, Sheikh Ndirangwa okulekulira kwe akwesigamizza ku ntalo ne bakulembeze banne, ezimusukiriddeko.

Agambye nti emirundi mingi, kigotaanyiza nemirimu gye.

Wabula yebazizza bonna bakoze nabo mu bbanga lino, okuli ba kadhi, ba imams okwetoloola egwanga n’abala.

Ndirangwa agambye nti okulekulira akikoze kulwobulungi, bwokugatta obusiraamu.

Ono abadde mu kifo kino okumala emyaka 6, nga yatuzibwa nga 16 mu Decemba 2015, okudda mu bigere bya Sheikh Zubair Kayongo, Mukama gweyajulula mu April wa 2015 ku ddwalro lya Aga Khan mu gwanga lya Tanzania.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *