Amawulire

Sheikh Ndirangwa asoomozeza abasiraamu

Sheikh Ndirangwa asoomozeza abasiraamu

Ivan Ssenabulya

April 23rd, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Eyali Supreme Mufti Sheikh ku muzikiti e Kibuli Sulaiman Kasule Ndilangwa asomoozezza abasilaamu abekwasa omuggalo gwa kafyu, ne batatuukiriza mpangi ya busilaamu ey’okusaala ekiro mu kiseera kino eky’ekisiibo.

Ndilangwa agamba nti ng’omusilaamu osobolera ddala okutuukiriza empagi eno ng’osinziira awaka wo bwatyo n’asaba abasilaamu okukomya okwekwasa obuntu obutaliimu nga batuuse ku ddiini.

Ono era abasiiba abasabye okwewala ebikolwa ebibattira ekisiibo ate era eneeyisa y’ekisiibo basigale nga bagenda nayo mu maaso ekisiibo ne bwekinaaba nga kiwedde.

Abadde ku muzikiti gwa Park Yard ogwa Ham wali ku Nakivubo, mu kampala gyakulembereddemu okusala Juma ya leero.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *