Amawulire

Sentebe wé Lwengo alagidde Lufula ziggalwe

Sentebe wé Lwengo alagidde Lufula ziggalwe

Ivan Ssenabulya

June 29th, 2020

No comments

Bya Prossy Kisakye, Sentebbe wa Disitulikiti y’e Lwengo, George Mutabaazi ayisiza ekirangiro nti tewali muntu n’omu agenda kuddamu kutema nyama mu Lwengo olw’obubbi bwazo obweyongedde.

Mutabaazi agamba nti abakijaaji benyinyi bebabbi era alagiridde nti gwe bakwatako ng’atambuza enyama mu Lwengo wa kukwatibwa.

Wabula akulira ekibiina ekirwanirira eddembe ly’obuntu mu Greater Masaka ki Volunteer Uganda extra, Bruce Tushabe awakanyiza ekya sentebbe mutabaazi okugaana abantu abakolera mu mateeka okutunda enyama nti kuba kubajako ddembe lyabwe.