Amawulire

Sentebe asabye poliisi ebayambe ku by’okwerinda

Sentebe asabye poliisi ebayambe ku by’okwerinda

Ivan Ssenabulya

November 9th, 2019

No comments

Bya Prossy Kisakye, Sentebe wa LC 1 ku kyalo kya creted towers e Nakasero Loy Irumba asabye abakuuma ddembe okubazimbira police post mu kitundu kyabwe oluvanyuma lw’obubbi okweyongera.

Nga ayogerako ne ddembe fm Irumba agamba nti ekitundu kyabwe kifuuse kya bulabe nyo naddala mu budde bw’ekiro mu bitundu bya golf course ne birala.

Kati asabye ssabapoliisi okubadukirira ku kikwata kunsonga ze by’okwerinda mu kitundu kyabwe nga babazimbira police post n’okwongera ku muwendo gwa poliisi erawuna mu budde bw’ekiro

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *