Amawulire

Sentebe akwatiddwa lw’akusobya ku bazzukulube

Sentebe akwatiddwa lw’akusobya ku bazzukulube

Ivan Ssenabulya

July 20th, 2019

No comments

Bya Ivan Ssenabulya, Poliisi ye sseeta Nazigo mu district ye Mukono eriko ssentebbe we kyalo gw’egaliddenga ku bigambibwa nti yasobezza ku bazzukulu be 3.

Bino bibadde ku kyalo Busaale mu muluka gwe Wankoba mu ggombolola ye Nakisunga.

Abaana bano nga bali wakati w’emyaka 9 ne 13 kigambibwa nti baali ba mutabaniwe, eyafa emyaka 4 emabega nga baali babaleeta ewa jajaabwe okubalabirira.

Omusango guno guli ku poliisi ye Seeta-Nazigo  era abaana buli omu akoze statement nganyonyola ebibaddenga bimukolebwako.

Yye ssentebbe w’egombolola ye Nakisunga Ssekikubo Mubarrak asabye, abazira akisa okuvaayo okuyamba abana bano, babajje mu maka ago.

 

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *