Amawulire

Seeka omulala atiddwa e Bugiri

Seeka omulala atiddwa e Bugiri

Ivan Ssenabulya

February 15th, 2020

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Omubaka wa munisipalai ye Bugiri Asuman Basalirwa asabye poliisi okutekamu obwnagu ate okukola okunonyereza okwanamaddala ku butemu obukoleddwa ku Shekha.

Sheikh Masudi Mutumba omu kuba Imam mu kitundu kino atiddwa, bwalumbiddwa abatamanya ngamba abamukubye amasasi.

Basalirwa atubuliidde nti etemu lino libadde ku kyalo Busimba, mu muluka gwe Lwemba nga ssaaawa nga 4 ezekiro.

Omwogezi wa poliisi mu Busoga East James Mubi akakasizza ettemu lino, waddenga mpaawo byayogedde ebikirawo.

Kati omubaka wa gavumenti e Bugiri Martin Mugabi agambye nti okunonyereza kutadise.

Kinajjukirwa nti ba shekha bangi abatiddwa mu myaka awo egyemabega, era mu butemu obwefanayirizaako nga buno.