Amawulire
Sebaggala alebukaana na bamubbako kibiina
Eyesimbyeewo ku bukulembeze bw’eggwanga Al- Hajji Nasser Ntege Sebaggala addukidde mu kkooti ku ky’ekibinja ekigamba nti kyekyatandikawo ekibiina kye ekya Liberal Democratic Transparency
Sebaggala amaze okutwala ensonga eno mu kkooti enkulu ng’ayagala kiragiro ekiyimiriza Zaid Mukasa okweyisa nga ssabawandiisi w’ekibiina okutuuka ng’omusango gwonna guwuliddwa.
Sebaggala agambye nti yalondebwa ng’akutte bendera ya LBT era nga y’alina okuddukanya emirimu gy’ebiina
Ono era agamba nti Mukasa baamugoba ku kifo kya sabawandiisi omwaka oguwedde kyokka ng’akyatambula n’ebiwandiiko by’ekibiina kya yeeyita omukulu ekitali kituufu
Kati kkooti eragidde Mukasa okwewozaako mu nnaku 15.