Amawulire

Sajja kulwanyisa Bobi Wine- Chameleon ayogedde

Sajja kulwanyisa Bobi Wine- Chameleon ayogedde

Ivan Ssenabulya

July 16th, 2019

No comments

Bya Prossy Kisakye, Ssabakunzi wekibina kye byobufuzi ékya Democratic Party Joseph Mayanja aka Jose chameleon asambazze ebibadde byogerwa nti yayingira ebyobufuuzi okulwanyisa omukulembeze wekisinde kya people power omubaka Robert Kyagulanyi aka Bobi wine.

Bino abyogeredde mu lukugaana lwabamawuliire ku’kitebe kye kibiina mu kampala.

Mayanja ategezezza nga ebyogerwa si bituufu kuba bobi wine abadde mukwano gwe okuvuiira ddala mu buto gwatayiza kukwatirwa nsalwa.

Mayanaja era ategezezza nga gyebuvudeeko bweyasobola okwogerezeganya ne bobi wine nebakiriziganya  okukolera awamu mu lugendo lwe nkyukakyuka.

Mungeri yemu Joseph Mayanja anyonyodde ku linnya rye erikola sente elya chameleon abantu lye bavunula nga bwebagala

Ono agamba nti erinnya yalifuna mu butobwe nnyina bweyali amubuulirira obutakyama kabuvubuka namugereza kuka Nnawolovu nti kambeera mu buli mbeera olw’’eneyisa yaako olwo bagandabe ne batandika okumuyita Chameleon

Bino bizeewo olw’abantu okwogera nga ono bwatasoboola kusigala mu kibiina kya DP mbu ajja kukyuka nga erinnya lye.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *