Amawulire

Safia Nalule alondeddwa okukulembera EOC

Safia Nalule alondeddwa okukulembera EOC

Ivan Ssenabulya

April 16th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Omukulembeze we’gwanga Yoweri K. Museveni alonze obukulembeze obugya, obwkakaiiko akakola ku bwenkanya mu gwanga aka Equal Opportunities Commission.

Mu bbaluwa gyeyawandiika eri omukubiriza wa palamenti, nga 23 March 2021, pulezidenti Museveni yalonze omubaka Safia Nalule Juuko nga ssentebbe wakakiiko ngagenda kumyukibwa Joel Ojok.

Abalala abalondeddwa, abagenda okutuula ku kakiiko kano kuliko, Denise Tumusiime, Zaidi Ibrahim Edema ne Sister Mary Wasagala.

Kati sipiika yalagiddwa nti bamuwe CV zaabwe n’ebirala ebibakwatako.

Ssentebbe omulonde yagenda okudda mu bigere bya Sylvia Ntambi Muweebwa, eyali aguddwako emisango gyenguzi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *