Amawulire

Robinah Nabanja alondeddwa kubwa Ssabaminista we’gwanga

Robinah Nabanja alondeddwa kubwa Ssabaminista we’gwanga

Ivan Ssenabulya

June 9th, 2021

No comments

Bya Basasi baffe

Omukulembeze we’gwanga, Yoweri K. Museveni akwungeezi akayise afulumizza aolukalala lwabantu beyalonze kubwa minisita.

Jesica Alupo yakomyewo mu lukiiko lwaba minisita, ngomumyuka womukulembeze we’ganga.

Abadde minisita webyobulamu omubeezi owa guno na guli Robinah Nabbanja, yalondeddwa kubwa Ssabaminisita we’gwanga.

Omukulembeze we’gwanga yalangirirdde abantu bano oluvanyuma lwakafubo kebabaddemu.

Kino kitegeeza nti abadde omumyuka womukuelmbeze we’gwanga Edward K. Ssekandi nabadde Ssabaminista Dr Ruhakana Rugunda babsudde nebabasikiza abakyala.

Abalala, munnamwulire Agnes Nandutu alondeddwa nga minisita we Karamoja nebifo ebiralala.

Kati olukalala luno mu bujjuvu luli mu Daily Monitor wa leero.

Ate ababaka ab’oludde oluvuganya gavumenti, bawakanyizza ekyomukulembeze we’gwanga okwongera ku muwendo gwaba minisita.

Kino bagambye nti kigenda kwongera okunyigiriza omuwi w’omusolo.

Ku Bbalaza akabonso kekibiina kya NRM kakiriza okusaba kwomukulembeze we’gwanga okwongera ku muwendo gwaba minisita okuva ku 79 okudda ku 80.

Omubaka wa Jinja North David Agha Isabirye agamba nti omuwendo gwaba minisita gwetaaga kukendeeza ssi kwongerako.

Yye omubaka wa Kampala central Muhammad Nsereko agambye nti ekizbu kino kiva ku muwendo gwaba NRM abasing obungi mu palamenti.

Agamba nti bakozesa embeera eno okuyisa kyebagala nebwekiba tekiyamba.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *