Amawulire

Rev. omukyala agenda kuweebwa obw pulovositi

Rev. omukyala agenda kuweebwa obw pulovositi

Ivan Ssenabulya

July 9th, 2019

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Ekanisa ya All Saints’ Cathedral, mu Kampala egenda kutuuza Provost omukyala anaaba asokedde ddala mu byafaayo bye kanisa ya Uganda, Rev. Canon Dr. Rebecca Margaret Nyegenye, nomubeezi we Rev. Captain David Serunjogi naku olwenkya.

Omukolo guno gwakubaawo mu kusaba okugenda okubaawo ku ssaawa 10 nga gwakukulemberwamu Ssabalabirizi we kanisa ya Uganda kitaffe mu Katonda Stanley Ntagali.

Provost yabeera omukulu wekifo era avunyzibwa ku kulungamya, ebyobukulembeze mu kanisa ya Uganda.

Rev. Canon Dr. Nyegenye alina PhD okuva mu University of KwaZulu-Natal, Master of Arts mbye ddiini oba Theology okuva mu Trinity Episcopal School for Ministry USA, Bachelor of Divinity okuva mu Uganda Christian University, ne Certificate mu Theology okuva mu Bishop Usher Wilson Theological College e Buwalasi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *