Amawulire

Rev John Charles Odurkami alondeddwa okukukulembera Kumi

Rev John Charles Odurkami alondeddwa okukukulembera Kumi

Ivan Ssenabulya

January 10th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Ssabalabirizi we kkaanisa ya Uganda, Kitaffe mu Katonda Dr Samuel Kaziimba Mugalu, alonze Rt Rev John Charles Odurkami ngomulabirizi owekiseera owobulabirizi bwe Kumi.

Mu bbaluwa gyeyawandiise nga 8 January 2021, Ssabalabirizi yasabye Rev Odurkami okujira ngabeera mu mitambo gya Diocese eno okutuusa Omulabirizi lwanalangirirwa.

Kino kydairirdde abadd omulabairizi we Kumi, Rt Rev Thomas Edison Irigei okunnyuka obuwereza nga 29 Decemba mu mwaka gwa 201, songa kkanisa egamba nti wabaddewo nokusomozebwa okulonda Omulabairizi omugya.

Bwatukirirddwa, Rev Odurkami asaiimye Ssabalabirizi olwobwesige bwamutaddeko, namuwa obuvunanyizibwa okujira ngamusumbirako ekisibo, oludda olwo.

Kinajjukirwa nto ono yoomu mu mwaka gwa 2014, yalondebwa ngomulabirizi owekiseera owobulabirizi bwe Kitgum oluvanyuma lw’omulabirizi Benjamin Ojwang okutuuka obuweza, omulimu gweyakola obulungi okutukira ddala mu 2018, Rt. Rev. Wilson Kitara alyoke amuddire mu bigere.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *