Amawulire

RCC alabudde ba ssentebbe bebyalo

RCC alabudde ba ssentebbe bebyalo

Ivan Ssenabulya

June 28th, 2021

No comments

Bya Ndhaye Moses

Abebyokwerinda balabudde ba ssentebbe bebyalo ku bipalati byebagaba ebikiriza abantu okutambula.

Omubaka wa gavumenti mu Kampala Hood Hussein agambye nti abantu bangi abawereddwa ebipalati okuva ku byalo, era gyebigweredde ngentekateeka yaabwe yonna egotaanye.

Kino agambye nti kyekivuddeko mmotoka okweyongera ku nguudo, era nomuggalo gulabika tegukyakola makulu.

Bino abyogedde bwabadde akwasibwa liita zamafuta 1500 okuva mu Nile breweries, okubayambako mu mirimu gyokulondoola abalwadde ba COVID-19 mu maka gaabwe.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *