Amawulire

Raila Odinga Yerangiridde, Abamu Batandise Okujaguza

Ivan Ssenabulya

August 10th, 2017

No comments

KENYA

Bya Ivan Ssenabulya

Abavuganya gavumenti ye gwanga lya Kenya mu mukago gwa NASA, bafulumizza ebyebwe okuva mu kulonda kwa bonna, nga berangiridde nga bwebali waggulu nga balyeebya no’bululu obukade 8 songa owa Jubilee, omukulembeze we gwanga Uhuru Kinyata yali mu kifo ekyobiri nobululu obukadde obuli mu 7.

Bano akawungeezi kano batuzizza bannamawulire, Musa Mudavadi, omu ku banna-mukago guno nategeeza nti balina amawulire amekusifu okuva mu kakiiko kebyokulonda munda aka IEBC, nti ebyuma bi kalimagezi ddala byakwatiddwamu nebagotanya obululu ekifuula nnenge.

Bano ababdde wamu ne mumaka waabwe, Raila Omolo Odinga, nebalaga bannamwulire byebogerako mu buwandiike.

Kati era bawandikidde akulira ebyokulonda Wafula Chebukati omukuku gwe bbaluwa nga bamutegeeza abalangirire ku buwanguzi, talangiriramu ebikyamu.

Kati amawulire agavaayo galaga ngabawagizi ba Raila Odinga bwebatandise okujaguza, obuwanguzi bwabwe, waddenga akakiiko akebyokuloda tekanalagirira ebyenkomererdde.

Kati akakiiko kabadde tekanavaayo okwanukula ku nsonga zino.

Ebikyasembyeyo ebyekiseera okuva mu kakaiiko kebyokulonda bikyalaga nti Uhuru Kenyatta akyali waggulu nobululu obukadde 8, nga 54% songa Raila Ondinga  nobululu obukadde 6 bye 44%.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *