Amawulire

Pulezidenti wa Tanzania ow’omukaaga

Pulezidenti wa Tanzania ow’omukaaga

Ivan Ssenabulya

March 19th, 2021

No comments

Bya Basasi baffe

Abadde omumyuka w’omukulembeze we gwanga lya Tanzania Samia Suluhu Hassan alayiziddwa ngomukulembeze we gwanga lino owomulundi ogwomukaaga, okudda mu bigere bya John Pombe Magufuli.

Magufuli yafudde mu kiro kyolunnaku Lwokusattu, nga gavumenti yategezezza nti yafudde kirwadde kya mutima.

Samia alayiziddwa, Ssabalamuzi we gwanga Ibrahim Juma mu maka gobwa pulezidenti mu kibuga Dar es Salaam.

Kati agenda kuwereza mu kifo ekyo, emyaka ejisgaddeyo ku kisanja kya Mugufuli, ekyemyaka 5 kyabadde yakawangula.

Kino kimufuula pulezidenti omukazi asokedde ddala mu East Africa era omukulembeze asoose, okutuula mu kifo kino ngava ku kinga kye Zanzibar.

Samia Suhulu Hassan, Yaani?

Bino byebitonotono ebimukwatako:

Hassan Suhulu yazalibwa mu January wa 1960 ku kiznga e Zanzibar, nga kino kitundu ku gwanga lya Tanzania eraywamu.

Yasoma Public administration oba ebyokubulembeze mu Tanzania ngoluvanyuma yagend neyeyongerayo nasoma emirmu gyejimu mu Manchester University, e Bungereza.

Mu mwaka gwa 1978, yafumbirwa Hafidh Ameir, omukugu mu byobulimi.

Okuva Samia lweyalondebwa ngomumyuka womukulembeze we gwanga taddangamu kulabikako ne bbaawe.

Bano balina abaana 4 bmu bufumbo bwabwe.

Okulondebwa kwe okusooka mu kifo kyobukulembeze kwaliwo mu 2000.

Yatandika okumanyika ne ttututumu lye okulinnya mu 2014 bwebamulonda ngamyuka ssentebbe Constituent Assembly, akakiiko akaali kalondeddwa okufuna ebirowoozo byabantu okubaga ssemateeka we gwanga omugya.

Ono atunuliirwa ngabadde omuntu owetowaze ebbanga lyamaz ngakola ne Magufuli, omuntu agambibwa nti abadde wampaka.