Amawulire

Pulezidenti Museveni mwetegefu okuwaayo entebe

Pulezidenti Museveni mwetegefu okuwaayo entebe

Ali Mivule

November 19th, 2015

No comments

File Photo: Mbabazi nga buza Museveni

File Photo: Mbabazi nga buza Museveni

Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni ategezezza nga bw’ajja okuwaayo obuyinza mu mirembe singa awangulwa mu kalulu ka 2016.

Nga ayogererako mu maka g’obwapulezidenti mu Arua, pulezidenti ategezezza nga bw’atalina mululu gwakukulembera ggwanga kale nga singa bamumegga mu kalulu wakudda ewuwe alunde ente.

Museveni wabula agambye nti mukiseera kino tewali tteeka lyonna limukugira kukulembera ggwanga lino.

Pulezidenti asuubirwa mu disitulikiti ye  Yumbe ne Moyo oluvanyuma lw’okutalaaga Koboko olunaku lw’eggulo.