Amawulire

Pulezidenti Museveni alumbye Mbabazi

Ali Mivule

October 30th, 2015

No comments

Pulezidenti Museveni alumbye eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi ng’amulumiriza okuttattana ekitebe ky’ekibiina.

Ng’ayogerako eri bannakibiina abakungaanidde e Namboole , pulezidenti agambye nti Mbabazi ekiseera kyeyamala nga ssabawandiisi w’ekibiina yadibaga bingi ku kibiina n’ategeeza nti ate Mbabazi tali yekka kubanga bannakibiina bangi abakulembeza ebyaabwe.

Asabye abakulembeze okubeera n’omwoyo ggwanga, nga bakola n’omutima gumu okuwereeza abantu ababassaamu obwesige.

Ono ategeezezza nti eno y’ensonga lwaki NRM ekyalina abawagizi olw’ensonga nti efa ku bantu kale nga tebasaanya kutta ngombo eno.

Ono era avumiridde emivuyo egyetobese mu kamyufu k’ekibiina n’asaba abantu okusigala nga bakkakkamu ku lw’ekibiina.