Amawulire

Pulezidenti Museveni alambudde ekibuga- asiimye Musisi

Ali Mivule

April 17th, 2014

No comments

M7 and old woman

Pulezidenti Museveni atendereza omulimu ogukoleddwa akulira abakozi mu kibuga Jennifer musisi mu kukyuusa endabika y’ekibuga

Ng’ayogerako eri abakozi ba KCCA e Lugogo, pulezidenti agambye nti ekibuga kampala kibadde kiddukanyizibwa b’ayise ababbi okumala ebbanga era nga beebakinnyika

Ono era asabye bannakampala okwewala okuyingiza ebyobufuzi mu nsonga za kampala bakolagane ne musisi mu kutwala ekibuga mu maaso

Museveni nga tannayogera bino asoose kulambula kibuga ng’ebimu ku bikujjuko by’okukuza emyaka 3 bukyanga Musisi etandika kuddukanya kibuga

Okulambula kwa museveni wabula kusinze kukosa batambulira mu kibuga abatubidde mu mugotteko gw’ebidduka

Okukyala kwe era kuzze ng’abaana bawummula ekyongedde okusajjula embeera y’entambula y’ebidduka