Amawulire

Pulezidenti Museveni akunze ku Luweero

Ali Mivule

April 30th, 2014

No comments

M7 and Luweero 2

Pulezidenti museveni asabye bannakibiina kya NRM okwegatta ekifo kye Luweero bwekiba nga kyakusigala nga kyaabwe

Kiddiridde bannakibiina kya NRM abalala basatu okuwera nga bwebagenda okwesimbawo ku lwaabwe nga bawakanya eky’okuyisaamu Rebecca Nalwanga nga tavuganyiziddwa.

Ono agamba nti okutwaala ekibiina mu maaso kyetaaga kwerekereza abalala okusimba mu mugongo gwa Nalwanga

Ono era asabye abalonzi okulonda abakulembeze abanawagira enteekateeka za gavumenti eggwnaga bweriba nga linaakula

Pulezidenti okwogera bino abadde ayogerako eri abakulembeze ba NRM  ku kitebe ky’obusumba bwe Kasaana