Amawulire

Pulezidenti Museveni akunze abantu okwewandiisa

Ali Mivule

April 13th, 2014

No comments

m7

Omukulembeze we gwanga Yoweri Kaguta Museveni atongozezza enkola ey’okuwandiisa abantu okufuna endaga Muntu ziyite Identity cards

President ng’asinzira e Nakasero ,agambye nti enteekateeka eno yakuzingiramu abantu bonna abawezezza emyaka 16, era nga yakubunyisibwa mu Uganda yonna .

Ono asabye banna Uganda obuteetulako beetabe mu ntekateeka eno, okusobola okumawo obumulumulu bwonna obubaddewo mu kulonda kko n’emiganyulo emirala.

Kinajjukirwa nti enteekateeka eno ewomeddwaamu omutwe aba minisitule ekola ku nsonag z’omunda mu ggwanga, amaggye , poliisi n’ebitongole ebirala

Kaadi ino era zakukolanga kaadi z’okulonda