Amawulire

Pulezident yeweredde abavuganya mu kampala

Ali Mivule

October 7th, 2013

No comments

Wandegeya mkt

Pulezident Museveni alumbye bannabyabufuzi abalemesa enteekateeka za gavumenti naddala mu Kampala

Ng’aggulawo akatale ke Wandegeya , president agambye nti tagenda kukkiriza muntu yenna ayimirira mu nteekateeka za nkulakulana

Ng’asonga mu babaka abaagobwa mu kibiina kya NRM, Pulezidenti era agambye nti ababaka bano bagobwa mu kibiina  kubanga baali battattana butattanyi mu kifo ky’okuzimba.

Mu ngeri yeemu asabye loodi meeya okumwetondera batambulire wamu nga Alhajji Nasser Ntege Sebaggala bweyakola

Wabula Pulezident asesezza abantu bw’ategeezezza ng’obululu bwe mu kampala bwebwabbibwa Dr Besigye

Ono era asabye aba KCCA okusigala nga baddukanya akatale kano baleme kukakwasa basuubuzi kubanga bakukonoona

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *