Amawulire

Prof Ogwanga bamuwadde layisinsi azimbe ekkolero

Prof Ogwanga bamuwadde layisinsi azimbe ekkolero

Ivan Ssenabulya

July 21st, 2021

No comments

Bya Ndhaye Moses

Ekitongole kivunanyizibwa ku basiga nsimbi mu gwanga, Uganda Investment Authority olwaleero bawadde Prof Patrick Ogwang layisinsi, akulira kampuni ya Jena Herbals Ltd okugenda mu maaso n’emirimu gyokukola eddagala lya COVIDEX erikozesebwa mu bujanjabi bwa ssenyiga omukambwe.

Layisinsi emukwasiddwa, minisita wabasiga nsimbi Evelyn Anite nga bamuwadde olukusa azimbe ekkolero lya Jena Herbals Ltd.

Minisita Anite, ategezezza nga bwebawadde Prof Ogwang, yiika z’ettaka 5 mu kibangirizi kyamakolero e Soroti atandike mirimu gye.

Mu birala gavumenti emuwadde emyaka 10 nga tebamusolooza musolo, okutuusa nga business ye emaze okukula ekimala.

Eddagala lya COVIDEX lyakolebwa mu muddo, lyakakasibwa ekitongole kyeddagala gyebuvuddeko likozesebwe mu bujanjabi bwa ssenyiga omukambwe.

Kati Anite alabudde abawawabira Prof Ogwang, babiveeko kbanga balabika bamala budde bwabwe.

Yye Prof. Ogwang agambye nti tatudde, aliko watuuse mu kunoonya ensimbi nebikozesebwa beirala kulwomulimu guno.

Agambye nti agenda kuwa abantu 200 emirimu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *