Amawulire

President agobye abakungu babiri mu kitongole ekikola ku butuuze.

Ivan Ssenabulya

March 22nd, 2018

No comments

Bya ben Jumbe.

Omukulemebeze we gwanga aliko e baluwa gyawandiikidde ministry ekola ku nsonga z’omunda mu gwanga , nga alagira okugobwa kw’abakungu 2 abakola ku nsonga z’obutuuze mu uganda. 

Ab’enkizo abagobeddwa kuliko director akola akola ku by’obutuuze Godfrey Sasaga  ko ne commissioner Anthony Namara.

Twogedeko ne minister akola ku nsonga z’omunda mu gwanga Obiga Kania n’agamba nti ensonga eno agitegedeko, wabula nga akyali mu India.

Ag’omunda galaga nga bwewaliwo bambega ababade baatekebwawo okunonyereza ku bakulu bano, wabula nga ensonga ebagobya mpaawo yagitegedde.