Amawulire

Poliisi eyogedde ku kufa kwa Zebra Ssenyange

Poliisi eyogedde ku kufa kwa Zebra Ssenyange

Ivan Ssenabulya

December 30th, 2020

No comments

Bya Juliet Nalwoga ne Abdul Nassar

Poliisi e Kawempe etandise okunonyereza ku butemu obukoleddwa ku mukubi webikonde e Bwaise Zebra Senyange.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala nemiriraano Luke Owoyesogyire agambye nti batuuse mu kifo, obutemu webwabadde era nebajjawo obujulizi bwonna bwebetaaga, okubadde nokwogera ku berabiddeko okunyonyola byebajjukira.

Omugenzi bamujje mu maka ge mu kiro ekikesezza olwaleero, nebamukubira amasasi mu kifo ekyesudde mita 400.

Ssenyange abadde amanyiddwa enny nga Zebra, yaliko kapiteeni wa tiimu ye gwanga eyebikonde okutukira ddala mu 2012, bweyatandika okuzannya ku mutendera gwensi yonna.

Oluvanyuma yatandikawo Zebra Boxing Club mu Gheto ze Bwaise, ngabadde mutendesi wa Lukanga Boxing Club ezimu ku zisinga mu gwanga.

Wafiridde nga ye mukwanaganya wemirimu gino na giri ku Uganda Boxing Federation, ekibiina ekiddukanya omuzannyo gwebikonde mu gwanga.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *