Amawulire

Poliisi eyodde ab’amenyi b’amateeka 20 mu Kampala

Poliisi eyodde ab’amenyi b’amateeka 20 mu Kampala

Ivan Ssenabulya

July 18th, 2019

No comments

Bya Prossy Kisakye, Poliisi ekoze ekikwekweto ku luguuddo lwa northern by pass mu Kampala mwe kwatidde abamenyi b’amateeka 20.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala nemiriraano Patrick Onyango agambye nti bano babakwatidde ku Lubigi, Namungoona, Masanafu n’ebifo ebiralala.

Onyango anyonyodde nti kino bakikoze okusobola okukwata ababbi bamasimu, abobusawo bwa bakyala na balala ababadde beefudde ekirala mu kunyagulula abatambuza ebigere mu kitundu kino nabatuuze abaliranyewo.

Ono alabudde nti ebikwekweto nga bino bya kugenda mu maaso okusobola okutebenkeza embeera.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *