Amawulire
Poliisi eyimirizza okuziika
Bya Abubaker Kirunda
Poliisi e Iganga eriko okuziiika kweyimirizza, nga kigambibw anti omugenzi yatiddwa baluganda lwe.
Omugezi ye Ismail Waiswa owemyaka 36 ngabadde mutuuze mu gombolola ye Nabitende.
Okusinziira ku mudumizi wa poliisi mu district ye Iganga David Willis Ndaula, ono baamutugira mu masuuka wabula abenganda babadde banguyirizaako okumuziika.
Omugenzi abadde musiraamu wabula babadde bamutadde mu keesi, ekyaletedde nabatuuze okwemulugunya ku mbeera eyabaddewo mu kuziika.