Amawulire

Poliisi ewenja omusajja atemye abantu 3 nadduka

Poliisi ewenja omusajja atemye abantu 3 nadduka

Ivan Ssenabulya

June 30th, 2020

No comments

Bya Juliet Nalwoga,Poliisi e kwankwanzi etandise okuwenja omusajja eyesuddemu embazuulu nakwata ejjambiya natematema abantu

Omusajja ono ategerekese nga Emmanuel,atemyetemye abantu ku kyalo Kagarama mu tawuni kanso y’e Butemba mu disitulikiti ey’e Kyankwanzi District.

Charles Twine omwogezi wekitongole kya CID agambye nti poliisi oluwulidde amawulire gano ne situkiramu okutuuka mu maka ga kalfred Mushabe era basanze abantu abawerako battiddwa

Mu battiddwa ku badeko omwana Joel Tayebwa owemyaka 4.

Emmanuel bweyavudde awo alumbye nomukazi abadde mu nnimiro namutiisatiisa okumutta ate oluvanyuma aliko abaana balala 2 batemyetemye natta okubadde

Nora Nakisindi owemyaka 3, ne Joel Ninsiima owemyezi 9

Twine agamba nti abantui abalala 8 balumizidwa ne badusibwa mu ddwaliro nga biwala ttaka.

Poliisi ekyagenda mu maaso nokunonyereza ekibagudde Emmanuel okutema abantu.