Amawulire

Poliisi ewadde omukadde gwebakuba ngafuyisa emitwalo 50

Poliisi ewadde omukadde gwebakuba ngafuyisa emitwalo 50

Ivan Ssenabulya

October 16th, 2020

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Poliisi evuddeyo okwanukula ku katambi akageze nga kasasaana ku mitimbagano, akalaga omusirikale wa poliisi ngakkira omukyala omukadde okumukuba embooko, eyali afuyisa ku mabbali ge kkubo.

Poliisi etegezezza nti bino byali Mbale omwezi oguwedde, wabulanga ebyembi omusirikale AIGP Okirol Samuel eyakola kino yafa gyebuvuddeko ngakatambi kano tekanatandika kusasaana.

Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Elgon Rogers Taitika wabula yetonze olwebikola kino era asabye abasirikale ba poliisi bulijjo okwolesanga obukugu obwekitalo nga bakola emirimu.

Bino abyogedde bwebabadde batusiizza obubaka omuli emitwalo 5 nebintu ebikalu ebibalirrwamu emitwalo 30 eri omukadde Grace Asio owemyaka 75 wali ku kyalo Dokolo mu Industrial division.

Ebintu bino byabawereddwa ssabapoliisi we gwanga, okubiwa omukadde ono oluvanyuma lwokulaba akatambi.