Amawulire

Poliisi evudeyo kububbi bw’ebigezo

Poliisi evudeyo kububbi bw’ebigezo

Ivan Ssenabulya

October 14th, 2019

No comments

Bya Juliet Nalwoga, Poliisi eriiko e namba z’esimu z’efulumiza okuwaabibwako emisango gy’obubbi bw’ebigezo ebitandise okukolebwa abayizi olunaku olw’aleero.

Ssekamwa wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba newankubadde entadikwa y’ebigezo ebya siniya ey’okuna bitandiise mirembe,abantu basabidwa okukozessa enamba ezibaweredwa okuwaaba emisango gy’abateberezebwa okwenyigira mu kukoppa oba okubba ebigezo.

Enamba ezifulumizidwa poliisi kuliko 0718 946 018 ne  0714 385 356 

Poliisi mu tawuni kanso ye Buwenge eriko nannyini w’essomero gwe galidde, nga kigambibwa nti ya bulankanya ssente ez’abayizi aba S4, ez’okwewandiisa mu kitongole ky’ebigezo ekya UNEB.

Omuddumizi wa poliisi mu kitundu kya Kiira North, Henry Mugarura agambye nti kino kidiridde abayizi okukeera bakole ebigezo byabwe wabula ne bakokomalira awo, aba UNEB bwe bategezezza nga bwebatabamanyi kubanga tebababwandiisa.

Abayizi bano bagezezaako okwekalakaasa, wabula poliisi ne bakakanya era ne babakwata.

Poliisi egamba nti okunonyereza kugenda mu maaso.

 

 

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *