Amawulire

Poliisi evudeyo ku bubaka obutiisatiisa bannauganda

Poliisi evudeyo ku bubaka obutiisatiisa bannauganda

Ivan Ssenabulya

February 1st, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga,

Poliisi egamba nti ekizudde nti obubaka obusasanidde emikutu egyomutimbagano nga butiisatiisa bannauganda bwe busindikibwa bannauganda abali emitala wa mayanja

Obutambi bwa vidiyo obugambibwa okuba nti busasanyizibwa bawagizi ba kibiina kya NUP, butegeeza bannauganda nga bwebalina okugula emmere bagiteke mu mayumba gabwe kuba ngennaku zomwezi 3rd ne 7th February tebalina kuva mu maka gaabwe kuba wakubaawo obwegugungo obuwakanya ebyava mu kulonda

Wabula bwabadde ayogerako ne bannamawulire ku kitebe kya poliisi e Naguru, omwogezi we ggye lye gwanga erya UPDF Brigadier Flavia Byekwaso agambye nti tebanyomye bubaka buno naye nakakasa bannauganda nti tewali agenda bakyankalanya obukuumi we buli