Amawulire

Poliisi etangaziza ku butya bwegenda okuteekesa ebiragiro bya pulezidenti munkola

Poliisi etangaziza ku butya bwegenda okuteekesa ebiragiro bya pulezidenti munkola

Ivan Ssenabulya

June 7th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga,

Poliisi evudeyo netangaza ku butya bwegenda okuteekesa ekiragiro kyomukulembeze weggwanga ekitangira emotoka obutasala kugenda mu disitulikiti ndala.

Mu kwogerako eri eggwanga pulezidenti Museveni yategezeza nti okutandika ngennaku zomwezi 10th June 2021, tebagenda kudamu kukkiriza ebidduka okuva mu disitulikiti emu okudda mu ndala okumala ennaku 42 lwa kirwadde

Mu kwogerako ne bannamawulire mu kampala, omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agambye nti basindise abakesi mu paaka ezenjawulo okulondoola abatagondere biragiro.

Songa poliisi yakweyambisa kamera zokunduugo okulamba enamba zemotoka ezinagezako okusala okugenda mu disitulikiti endala bakubire boffiisa babwe abali mu kitundu okuzilondoola.

Enanga gambye nti nabasirikale babwe abokunguudo bakuweebwa emmundu okunyweza ebyokwerinda ku nguudo

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *