Amawulire

poliisi etandise okunonyereza ku muliro ogukute Park View

poliisi etandise okunonyereza ku muliro ogukute Park View

Ivan Ssenabulya

October 6th, 2019

No comments

Bya Rita Kemigisa, Poliisi etandise okunonyereza ku kyavirideko nnambabula w’omuliro ogukute ekizimbe kya park View Shopping Centre ekisangibwa mu Kampala wakati.

Okusinzira ku mwogezi wa poliisi mu Kampala ne miriraano Luke Oweyesigyire omuliro gwatandikidde mu woteeli eri ku kizimbe kino.

Wabula poliisi ezikiriza omuliro esobodde okutuuka mu budde ne guzikiza obutasananira bizimbe birala.

Oweyesigyire agamba nti tebanategeera kivirideko muliro kukwata woteeli naye ngokunonyereza kutandise.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *