Amawulire

Poliisi esiibye wa Nambooze

Poliisi esiibye wa Nambooze

Ivan Ssenabulya

August 10th, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Omubaka wa munsipaali ye Mukono Betty Nambooze avumiridde engeri poliisi gyesiibye nga yebulunguludde amaka ge, okumutangira aokwekalakasa kyagamba nti kubadde kulinyirira ddembe lye erimuweebwa ssemateeka.

Nambooze yabadde atagese okwekalakaasa nokugenda ku kitebbe kya munispaali ye Mukono, okuwakanya ebikwekweto ebigenda mu maaso nga bagoba abasubuzi ku mabbali gengduudo.

Ebikwekweto bino era byafiramu nomuntu eyakubwa amasanyalaze, ngataasa ebibye.

olwaleero obudde bwagenze okukya nga poliisi ebadde ekulembeddwamu DPC we Mukono Rogers Sseguya nga yagumbye dda mu maka ge agasangibwa mu Kavule mu Central Divison.

Wabula agambye nti kikyamu, kuba yabawnadikira nebatamuddamu ate kyebakoze kwekumuggalira mu nnyumba, nga nabaana be agamba nti tebasomye.

Yye omuddumizi wa poliisi mu Kampala East Michael Musani alabudde abantu be Mukono bewalire ddala ebikolwa ebyokwekalakaasa.

Agam,bye nti era babadde balina okumutangira okwekalakaasa, obutataganya mirimu gyabantu balala.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *