Amawulire

Poliisi ereese etteeka ku Ddembe ly’obuntu

Poliisi ereese etteeka ku Ddembe ly’obuntu

Ivan Ssenabulya

February 13th, 2019

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Poliisi yeyamye okussa ekitiibwa mu ddembe lyobuntu nokukwasisa amateeka, ku ddembe lyabantu.

Bwabadde atongoza etteeka ku ddembe lyobuntu erisokedde ddala, lyebagenda okugoberera nga apoliisi, ku ttensdekero lyabwe e Bwebajja, Ssabadumizi wa poliisi mu gwanga Martins Okoth Ochola, agambye nti etteeka lino, ligenda kubayamba okumalwo emiwaatwa, ejibadde jibavirako okukola ebitatukirdde.

Ategezeza nga bwebabadde bagezaako ebintu bingi, ngektongole ekikwasisa empisa mu poliisi nebiralala, naye babadde bakyalemereddwa.

Kati etteeka lino Ochola agambye nti baakuddangamu okulyekennenya buli luvanyuma lwe bbanga eggere, nga waliwo obwetaavu okulikolamu enongosereza.

Ebimu ku byebasimbyeko amannyo, kwekusaawo obwerufu, okussa ekitiibwa mu mateeka, eddembe lyobuntu nebiralala nga bakola emirmu gyabwe.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *