Amawulire

Poliisi eragidde Bbajjo ne Abitexi bayimirize emisinde gyebategeka

Poliisi eragidde Bbajjo ne Abitexi bayimirize emisinde gyebategeka

Ivan Ssenabulya

September 5th, 2019

No comments

Bya Prossy Kisakye

Poliisi erabudde abategesi b’ebivvulu Andrew Mukasa amanyiddwa nga Bajjo ne Abbey Musinguzi amanyiddwa nga Abitex okutagenda mu maaso nmisinde gyebategeka okubaawo nga 9 Octoba.

Bano olunnaku lwe ggulo batongozza emisinde gyabwe ku Muganzi Lwaza e Katwe, gyebagamba nti muno bagenda okusonda ssente okuyimbula abasibe, abatalina ssente ez’okubabeyimirira nga baludde mu makomera.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango agambye nti tebanafuna ku bbaluwa, ebategeeza ku ntekateeka zino.

Wabula bbo abategesi bagamba nti mu kino bagala kuyamba abo, abatesobola.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *