Amawulire

Poliisi erabudde ku balonda buli kye basanze

Poliisi erabudde ku balonda buli kye basanze

Ivan Ssenabulya

September 22nd, 2019

No comments

Bya Prossy Kisakye, Poliisi erabudde bannauganda naddala abalonda sikulaapu okubeera ab’egendereza ku bintu bye balondalonda.

Kino kidiridde ekintu ekyefananyirizako bbomu okubwatuka olunaku lw’eggulo wali mu katawuni k’e Mabanda e Matugga mu disitulikiti y’e wakiso omuntu omu nafiirawo n’abalala 8 ne batusibwako obuvune obw’amaanyi

Amyuka omwogezi wa poliisi mu kampala ne miriraano Luke owoyesigire agamba nti kyabulabe nyo abantu okumala galonda buli kye basanze kuba ebimu biba byabulabe

Ono asabye abantu bwebabaako kye bekengedde obutasooka kikwatako wabula bategeeze poliisi

Mungeri yemu poliisi efulumiza olukalala lw’amaanya ga bantu abakosedwa mu kubwatuka okwabaddewo, ng’omugenzi ye Abdul Yiga,abadde akola ogw’okugolola ebyuma mu kibanda e Mabanda okubwatuka gyekwabadde

Ate abalumizidwa kuliko Rogers Matovu,omuvuzi wa bodaboda, Moreen Nimbabazi,ow’e Bombo, Gerald Kajubi ow’e Matugga n’ategerekeseko elya Galiwango.

Abalala ye Rashid Mukasoma, omu ategerekeseko elya one Ssalongo, Namulibwa ne Fatima Nantongo.

Owoyesigire asabye ababulidwako abantu babwe okugenda mu ddwaliro e Mulago bano gyebali mu kujanjabirwa okulaba oba babamanyi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *