Amawulire

Poliisi enyuludde omulambo gwómwana eyasuliddwa mu kabuyonjo

Poliisi enyuludde omulambo gwómwana eyasuliddwa mu kabuyonjo

Ivan Ssenabulya

May 22nd, 2020

No comments

Bya Ivan Ssenabulya, Omwana omuwere poliisi gweyanyuludde okuva mu kabuyonjo, olunaku lweggulo mu disitulikiti y’e Arua afudde.

Omwana ono afiiridde mu ddwaliro ekkulu erya Arua Regional Referral hospital, ng’okwekebejja omulambo kugenda kukolebwa oluvanyuma aziikibwe.

Poliisi yabadde esobodde okutaasa omwana ono, bweyamujeeyo mulamu nga kigambibwa nti maama we eyabadde yakazaala yeyamusuddemu ku kyalo Abira mu gombopola ye Oluko mu Arua.

Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu West Nile Josephine Angucia, Maama womwana ono Viola Ponny, ow’emyaka 18 munoonyi wabubudamu eyava mu South Sudan, nga yeyezalisizza ngabadde n’olubuto ngalukweka.

Agambye nti okunonyereza kugenda mu maaso, wabulanga omukazi agenda kuvunanibwa gwa butemu