Amawulire

Poliisi enyonyodde ku muliro ogukutte ku KIU

Poliisi enyonyodde ku muliro ogukutte ku KIU

Ivan Ssenabulya

April 23rd, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Poliisi e Kabalagala etandise okunonyereza ku muliro nabbambula, ogukutte ku ttendekero lya Kampala International University.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala nemirirwano, Luke Owoyesigyire agambye nti omuliro guno gusanyizaawo ebiriiro byemmere, amaduuka nobuduuka bwa mobile money.

Omulri guno gwatandise matumbi budde, mu kiro ekikesezza olwaleero wabulanga abazinya mwoto bagezezaako okukola ekisoboka okuguzikiriza.

Owoyesigyire agambye nti obudde bugenze okusasaana, ngomuliro bagumaze amamiima.

Agambye nti batebereza nti omuliro guno gwavudde ku stove eyalekeddwa ngeyaka munda mu kantiini.

Poliisi egamba nti tebanakakasa muwendo gwabintu ebitokomokedde mu muliro guno.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *