Amawulire

Poliisi enonyereza kunfa y’omunnansi wa Rwanda

Poliisi enonyereza kunfa y’omunnansi wa Rwanda

Ivan Ssenabulya

July 7th, 2019

No comments

Bya Prossy Kisakye, Poliisi mu disitulikiti y’ekisoro etandise okunonyereza kunfa y’omunnansi w’eggwanga erya Rwanda agambibwa okuba nga yakubiddwa n’okumufumitafumita okutuusa lwe yafudde.

Omugenzi ye Niyonzima Fauste 38yrs, ng’abadde akola mirimu gyalejalejja ku kyalo Ndagijimana mu gombolola ye Muramba.

Obuttemu buno bwaliwo ku lw’okutaano naye omulambo gwe guzuulidwa lw’aleero ku kyalo Mugwata mu gombolola ye Muramba ku mabali gekkubo.

Poliisi omulambo egugyewo ne gutwala mu ggwanika mu ddwaliro lye kisoro okwongera okugwekebejja.

Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye kigezi Elly Maate atubuulidde nti bakute omusajja ategerekese nga Bemenya Charles 55yrs, nnyini bbaala omugenzi mweyalasemba okulabwako abayambeko mu kunonyereza.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *