Amawulire

Poliisi ekyakutte akati mu kutyoboola eddembe lya bannamawulire

Poliisi ekyakutte akati mu kutyoboola eddembe lya bannamawulire

Ivan Ssenabulya

July 30th, 2020

No comments

Bya Benjamin Jumbe, Poliisi ekyakutte ekifo ekisooka mu kulinyirira eddembe lya bannamawulire mu ggwanga

Bino bifulumidde mu alipoota eyomulundi ogwe 11 ekwata ku ddembe lya bannamawulire ekoledwa ekibiina ekirwanirira eddembe lya bannamawulire ki Human Rights Network for Journalists eraze nti ebikolwa ebyokultyoboola eddembe lya bannamawulire byeyongedde okuva ku misango 163 egyalopebwa mu 2018 okutuuka ku misango 165 omwaka oguwedde

Mu kufulumya alipoota eno mu kampala senkulu wekibiina kya Robert Ssempala agambye nti poliisi etyobodde eddembe lya bannamawulire ne bitundu 60% ne ddirirwa ekitongole ekivunanyizibwa ku bye mpuliziganya ki Uganda Communications Commission -22% ate eggye lya updf likutte kyakusatu nebitundu 3.6%.

Ebimu ku binokodwayo mwe muli okulemesa bannamawulire okukola egyabwe

Wabula ASP Cornelius Beyanga okuva mu kitongole kya poliisi ekirwanirira eddembe lyobuntu ategeezeza nti poliisi terina kukola bikolwa birinyirira ddembe lya bantu era neyotonda olwa bamu ku boffiisa abakikola